MWEKOLERE! Mukomye okukaabirira gavumenti okubajja mu bwavu, Katikkiro Mayiga alabudde abantu ba Kabaka

©GALAXY

Katikkiro wa Buganda munnamateeka omutendeke Charles Peter Mayiga alabudde abantu ba Kabaka okukomya okukaabirira gavumenti okubajja mu bwavu wabula beekembe bakole, bafisse, ate basige basobole okwejjako olumbe lw’obwavu. Mukuuma Ddamula bw’abadde yeetabye mu lukungaana lw’ekibiina ky’obwegassi ki kina- kwekulaakulanya sacco ekisangibwa e Kinaawa mu Busiro, agambye nti abantu beebalina okukola ennyo okuva mu bwavu okusinga […]


Katikkiro wa Buganda munnamateeka omutendeke Charles Peter Mayiga alabudde abantu ba Kabaka okukomya okukaabirira gavumenti okubajja mu bwavu wabula beekembe bakole, bafisse, ate basige basobole okwejjako olumbe lw’obwavu.
Mukuuma Ddamula bw’abadde yeetabye mu lukungaana lw’ekibiina ky’obwegassi ki kina- kwekulaakulanya sacco ekisangibwa e Kinaawa mu Busiro, agambye nti abantu beebalina okukola ennyo okuva mu bwavu okusinga okuyimba oluyimba buli lunnaku Gavumenti etuyaambe.
Mungeri y’emu agambye nti, abantu okujjumbira okulima ebintu ebyenjawulo omuli emwanyi, kigenda kuyamba nnyo okufuna ssente okwekulakulanya okusinga okulinda Gavumenti ku buli nsonga yonna.