Enduulu yasanikidde Serena Hotel mu Kampala ku Lwokutaano, mukyala wa Eddy Kenzo, Rema Namakula bwe yalinye ku siteegi okuyimba ne Ykee Benda oluyimba “Whistle” wakati mu namungi w’omuntu. Rema yabadde ayambadde bulungi nnyo kyokka engeri obwedda gy’ayimba ne Ykee Benda, abadigize bafunye ku nseko era wakati mu kuyimba, Ykee Benda yasemberedde Rema namukwatako era amangu […]
Enduulu yasanikidde Serena Hotel mu Kampala ku Lwokutaano, mukyala wa Eddy Kenzo, Rema Namakula bwe yalinye ku siteegi okuyimba ne Ykee Benda oluyimba “Whistle” wakati mu namungi w’omuntu.
Rema yabadde ayambadde bulungi nnyo kyokka engeri obwedda gy’ayimba ne Ykee Benda, abadigize bafunye ku nseko era wakati mu kuyimba, Ykee Benda yasemberedde Rema namukwatako era amangu ddala abadigize bagambye nti,”Ykee Benda alaze Kenzo webakwata Rema naafuna essannyu“.
Ku siteegi, Rema yayimbye ennyimba ezenjawulo okwongera okukyamula abalabi omuli Touch My Body n’endala era bangi bakiriza nti mu Uganda Rema y’omu ku bakyala abalina talenti.