Fresh Kid asinga Minisita okuddamu ebibuuzo kuba alina amagezi, Gashumba awanda muliro, abotodde ebyama

©GALAXY

Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda ayagala omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 bamwekebejje emyaka okuzuula emituufu. Gashumba agamba nti omwana Fresh Kid ku myaka 7 asukkiridde obugezi era alina kuba ku yunivaasite. Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire Gashumba agambye nti, Fresh Kid ku magezi ge, alina kuba muwandiisi wa Minisita w’eggwanga owa tekinologiya, […]


Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda ayagala omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 bamwekebejje emyaka okuzuula emituufu.
Gashumba agamba nti omwana Fresh Kid ku myaka 7 asukkiridde obugezi era alina kuba ku yunivaasite.


Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire Gashumba agambye nti, Fresh Kid ku magezi ge, alina kuba muwandiisi wa Minisita w’eggwanga owa tekinologiya, Aidah Erios Nantaba kuba ategeera bulungi okuddamu ebibuuzo okusinga ne Nantaba.