Kyaddaki Fabiola alaze lwaki Minisita Kiwanda yamusembeza n’okuggyawo Zari mu kumulambuza ensibuko y’amazzi

©GALAXY

Kyaddaki Anita Fabiola alaze lwaki Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi yamusikiza Zari Hassan mu kutumbula ebyobulambuzi. Minisita Kiwanda agamba nti abantu nga Fabiola balina abantu bangi nnyo ababagoberera ku mitimbagano era y’emu ku nsonga lwaki Minisitule y’ebyobulambuzi ebetaaga bayambeko mu kusikiriza abalambuzi. Omwaka oguwedde, Fabiola y’omu ku bawala abakulemberamu kampeyini “tulambule” era ye ne […]


Kyaddaki Anita Fabiola alaze lwaki Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi yamusikiza Zari Hassan mu kutumbula ebyobulambuzi.
Minisita Kiwanda agamba nti abantu nga Fabiola balina abantu bangi nnyo ababagoberera ku mitimbagano era y’emu ku nsonga lwaki Minisitule y’ebyobulambuzi ebetaaga bayambeko mu kusikiriza abalambuzi.
Omwaka oguwedde, Fabiola y’omu ku bawala abakulemberamu kampeyini “tulambule” era ye ne Minisita Kiwanda baalambula ebifo ebyenjawulo omuli n’okulambula ensibuko y’amazzi ku River Nile.

Minisita Kiwanda ne Fabiola
Minisita Kiwanda ne Fabiola

Ku mukutu ogwa Instagram, Fabiola ataddeyo vidiyo ng’atambula era bangi ku bagoberezi be bamatidde nti omwana alina Work era kyali kituufu Minisita Kiwanda okuggyawo Zari ku lwa Fabiola.
Bagamba nti Fabiola muwala mulungi, alabika bulungi era okutambula kwe mu bifo byobulambuzi, kisikiriza bangi ku bantu abategeera okulya obulamu n’okusingira ddala, okulambula ekifo kyonna olwa Fabiola.

View this post on Instagram

A post shared by FABIOLA (@anitahfabiola)