Abaganda balina enjogera mu nsi y’omukwano nti teri mukazi adiba kuba buli mukyala alinayo omusajja amwegomba. Enjogera eyo, etuukiridde ku muyimbi Rema Namakula mukyala wa Eddy Kenzo, kuba mu kiseera kino, abasajja abenjawulo batandiise okwesowolayo mu lwatu okutegeeza nti bali mu mukwano ne Rema. Wadde abasajja bangi beegomba Rema ku bintu ebyenjawulo kyokka abamu ne […]
Abaganda balina enjogera mu nsi y’omukwano nti teri mukazi adiba kuba buli mukyala alinayo omusajja amwegomba.
Enjogera eyo, etuukiridde ku muyimbi Rema Namakula mukyala wa Eddy Kenzo, kuba mu kiseera kino, abasajja abenjawulo batandiise okwesowolayo mu lwatu okutegeeza nti bali mu mukwano ne Rema.
Wadde abasajja bangi beegomba Rema ku bintu ebyenjawulo kyokka abamu ne batya okwatula, wuuno omusajja Prince Hashim Musuuza yeesowoddeyo okulaga nti Rema y’omu ku bakyala abamuli ku mutima kuba asukkiridde obulungi.
Musuuza asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okulaga laava ye eri Rema, “Some times when i see your pics, i loose captions. Not because i gat nothing to say buh because i gat alot to say. Buh i need the best for u Ma Princess. Ma queen. Number one diva. I love u the queen of my heart n life, Forever to last“.
Ebigambo bya Prince Hashim Musuuza, kabonero akalaga nti abasajja bangi abegwanyiza Rema era alina okutya kuba abasajja bayinza okumusigula ne bamutwala.