MBIKOOYE! Spice Diana atabukidde abayimbi, awadde Sheebah ne Cindy amagezi ku by’obugagga byaabwe

©GALAXY

Omuyimbi Spice Diana avuddeyo ku nsonga y’abantu abasukkiridde okwesoma n’okulangira banaabwe nti balina eby’obugagga. Omwezi oguwedde, Sheebah Kalungi yategeeza nti ye alina amaka e Munyonyo era tewali mbeera yonna lwaki muyimbi munne Cindy Sanyu ayagala ‘battle’ ku siteegi emu mu kisaawe ky’okuyimba nga talina kyalina wadde Poloti. Ebigambo ebyo, bangi ku bannayuganda bategeeza nti Cindy […]


Omuyimbi Spice Diana avuddeyo ku nsonga y’abantu abasukkiridde okwesoma n’okulangira banaabwe nti balina eby’obugagga.

Omwezi oguwedde, Sheebah Kalungi yategeeza nti ye alina amaka e Munyonyo era tewali mbeera yonna lwaki muyimbi munne Cindy Sanyu ayagala ‘battle’ ku siteegi emu mu kisaawe ky’okuyimba nga talina kyalina wadde Poloti.

Ebigambo ebyo, bangi ku bannayuganda bategeeza nti Cindy okusinga Sheebah okuyimba ‘Live’ ku siteegi y’emu ku nsonga lwaki Sheebah ayingizaamu ennyumba kuba ye muyimbi wa ‘CD’.

Wabula Spice Diana alina amagezi gaawadde Sheebah ne banne abakulembeza okwesoma ku bintu bye balina.

Spice agamba nti togerageranya bulamu bwo ku bwa balala, tewali kigatta njuba ku mwezi kuba buli kimu kirina obudde bwakyo, “Don’t compare your life to others. There is no comparison between the sun and the moon. They shine when it’s there time“.

https://www.instagram.com/p/BvwWscLFSNW/