Minisita Nakiwala atabukidde Fresh Kid, bubuno obukwakulizo 4 bw’amutaddeko okusobola okuyimba mu kivvulu kyonna

©GALAXY

Kyaddaki Minisita omubeezi ow’abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi awadde abazadde b’omwana Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 obukwakulizo bwe balina okutuukiriza mu kutumbula talenti y’omwana waabwe. Olunnaku olw’eggulo, aba famire ya Fresh Kid nga bakulembeddwamu Kitaawe Paul Mutabaazi, manejja we Kamoga Francis n’abalala bakyaliddeko Minisita Nakiwala mu offisi ye mu Kampala okusaba Minisita […]


Kyaddaki Minisita omubeezi ow’abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi awadde abazadde b’omwana Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 obukwakulizo bwe balina okutuukiriza mu kutumbula talenti y’omwana waabwe.

Olunnaku olw’eggulo, aba famire ya Fresh Kid nga bakulembeddwamu Kitaawe Paul Mutabaazi, manejja we Kamoga Francis n’abalala bakyaliddeko Minisita Nakiwala mu offisi ye mu Kampala okusaba Minisita akirize omwana okuyimba bwa bw’asoma.

Minisita Nakiwala yagambye nti omwana Fresh Kid alina eddembe okuyimba kyokka alina okusoma era yawadde abazadde obukwakulizo obw’enjawulo bwe balina okuteeka mu nkola omuli

1 – Fresh Kid alina okuyimba ku wikendi zokka

2 – Mu biseera by’oluwumula (Holiday) alina eddembe okuyimba buli lunnaku.

3 – Okuyimba mu bivvulu byonna, talina kusussa ssaawa 2 ez’ekiro.

4 – Alina okwesonyiwa okuyimbira mu bbaala