Bobi Wine azzeemu okuwanda omuliro, asindikidde Pulezidenti Museveni obubaka obukambwe, awadde essuubi bannayuganda

©GALAXY

Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine avuddemu omwasi ku y’okukwata obuyinza mu kulonda kwa 2021. Bobi Wine agamba nti abantu bangi nnyo mu ggwanga lino n’okusingira ddala abavubuka bamalirivu okweyambisa emmundu, effujjo okufuna obuyinza kyokka baasalawo okweyambisa enkola y’emirembe kuba tebaagala kwenyigira mu ffujjo lyonna. Mungeri y’emu […]


Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine avuddemu omwasi ku y’okukwata obuyinza mu kulonda kwa 2021.

Bobi Wine agamba nti abantu bangi nnyo mu ggwanga lino n’okusingira ddala abavubuka bamalirivu okweyambisa emmundu, effujjo okufuna obuyinza kyokka baasalawo okweyambisa enkola y’emirembe kuba tebaagala kwenyigira mu ffujjo lyonna.

Mungeri y’emu azzeemu okubiriza abantu okwewandisa okufuna Densite y’eggwanga basobole okwetaba mu kulonda kwa 2021.

Bobi Wine agamba nti alina esuubi nti akalulu kasobola bulungi nnyo okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga lino kuba balina ekyokulabirako.

Agamba nti olwa kalulu ng’abalonzi balina Densite, baawangula akalulu k’e Kyadondo East, Jinja East, Arua n’ebintu ebirala.

Omuyimbi Bobi Wine era awadde abantu esuubi bwategezeza nti abalonzi singa bafunye Densite n’okwegata, 2021 balina okuggya ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza.

Bobi Wine abadde ku Hotel Africana mu Kampala, ebibiina okuli Democratic Party (DP), People Development Party (PDP), Social Democratic Party (SDP) we bikunganidde okusayininga endagano, 2021 okwegata okuleeta omuntu omu ku ntebbe y’obukulembeze bw’eggwanga lino.