Awilo Longomba omuyimbi okuva mu ggwanga erya Democratic Republic of the Congo (DR Congo) alina abayimbi basatu (3) baawadde omukisa okuyimba bombi (Kolabo) mu Uganda. Olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano, Longomba amanyikiddwa nnyo mu nnyimba za Soukous (Lingala) alina ekivvulu ku Serena Hotel mu Kampala era yatuuse mu Uganda olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu. Mu kwogerako eri […]
Awilo Longomba omuyimbi okuva mu ggwanga erya Democratic Republic of the Congo (DR Congo) alina abayimbi basatu (3) baawadde omukisa okuyimba bombi (Kolabo) mu Uganda.
Olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano, Longomba amanyikiddwa nnyo mu nnyimba za Soukous (Lingala) alina ekivvulu ku Serena Hotel mu Kampala era yatuuse mu Uganda olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu.
Mu kwogerako eri bannamawulire, yabuuziddwa oba alina ekirowoozo ky’okuyimba ne munnayuganda yenna (kolabo) era mu kwanukula yanokoddeyo abayimbi basatu (3) bokka Eddy Kenzo, Dr Jose Chameleone ne Cindy Sanyu.
Eddy Kenzo okunokolwayo kiraga nti azzeemu okukola ebyafaayo mu myaka 10 kuba mu kiseera kino ye muyimbi munnayuganda akyasinze okuyimbi n’abayimbi abanene okuva mu nsi endala nga tasasudde ssente yonna, ekiraga nti omukyala Rema Namakula y’omu ku bantu abasiinga okumusabira.
Sabiti ewedde, kyakakasibwa nti Kenzo agenda kulabikira mu vidiyo y’omuyimbi Chris Brown okuva mu ggwanga erya America era ye muyimbi munnayuganda asoose okufuna obuwagizi obungi okuva mu nsi z’ebweru.