Abamu ku bannayuganda balabudde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okukomya okulumbagana Dr Kizza Besigye kuba amusinga buli kimu. Olunnaku olw’eggulo Bobi Wine yagambye nti, “waliwo abakulembeze abagamba nti akalulu tekayinza kuggya Museveni mu buyinza ate balemeddwa okuwa bannayuganda kye balina okukola okufuna enkyukakyuka. Tolina kwogera ku dimokulase […]
Abamu ku bannayuganda balabudde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okukomya okulumbagana Dr Kizza Besigye kuba amusinga buli kimu.
Olunnaku olw’eggulo Bobi Wine yagambye nti, “waliwo abakulembeze abagamba nti akalulu tekayinza kuggya Museveni mu buyinza ate balemeddwa okuwa bannayuganda kye balina okukola okufuna enkyukakyuka. Tolina kwogera ku dimokulase kuba wesimbyewo emirundi ena (4) kyokka ku mulundi gw’okutaano (5) ogamba tekisoboka, ffe tugamba kisoboka”
Ebigambo bya Bobi Wine, kabonero akalaga nti yabadde alumbagana Dr Besigye myaka 62 owa Forum for Democratic Change (FDC) kuba mu Uganda, ye musajja yekka eyakavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga emirundu ena (4) mu 2001, 2006, 2011 ne 2016.
Bobi Wine yabadde ku Hotel Africana mu Kampala, ebibiina okuli Democratic Party (DP), People Development Party (PDP), Social Democratic Party (SDP) we byakunganidde okusayininga endagano, 2021 okwegata okuleeta omuntu omu ku ntebbe y’obukulembeze bw’eggwanga lino.
Wabula abamu ku bannayuganda bamutabukidde era bamulabudde okwesonyiwa Dr Besigye kuba akoze nnyo okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga.
