EBIFAANANYI! Dr Kizza Besigye agondedde ekiragiro kya Kabaka, akedde mu Lubiri kudduka, Bobi Wine tafunyeewo kabonero

©GALAXY

Dr Kizza Besigye y’omu ku bannabyabufuzi abakedde mu Lubiri e Mmengo okwetaba mu misinde gya Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II egikulembeddemu ebikujjuko by’amazaalibwa ge age 64. Bangi ku baddusi babadde balindiridde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okwetaba ku misinde gy’akabaka ekitasobose kuba mu kiseera […]


Dr Kizza Besigye y’omu ku bannabyabufuzi abakedde mu Lubiri e Mmengo okwetaba mu misinde gya Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II egikulembeddemu ebikujjuko by’amazaalibwa ge age 64.

Bangi ku baddusi babadde balindiridde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okwetaba ku misinde gy’akabaka ekitasobose kuba mu kiseera kino ali mu ggwanga erya Germany mu kibuga Berlin mu lukungana olw’enjawulo olwetabiddwamu abakulembeze bangi n’okusingira okuva mu Africa.