Omuyimbi Irene Ntale alangiridde okuwa Fresh Kid kolabo y’oluyimba nga tamusabye wadde 100. Ntale agamba nti Fresh Kid ku myaka 7 ayimba bulungi, alina talenti, era y’emu ku nsonga lwaki amuwadde kolabo wadde tanaba kwogerako naye. Mungeri y’emu Ntale agamba nti ku myaka 7, Fresh Kid yamwewuunyizza engeri gyaddamu ebibuuzo ku laadiyo ne Ttiivi, ekiraga […]
Omuyimbi Irene Ntale alangiridde okuwa Fresh Kid kolabo y’oluyimba nga tamusabye wadde 100.
Ntale agamba nti Fresh Kid ku myaka 7 ayimba bulungi, alina talenti, era y’emu ku nsonga lwaki amuwadde kolabo wadde tanaba kwogerako naye.

Mungeri y’emu Ntale agamba nti ku myaka 7, Fresh Kid yamwewuunyizza engeri gyaddamu ebibuuzo ku laadiyo ne Ttiivi, ekiraga nti wanjawulo nnyo mu kisaawe ky’okuyimba era bamwetaaga.
Mu kiseera kino Fresh Kid alina ennyimba bbiri (2) ezimanyiddwa okuli Banteka ne Bambi.