Ponsiano Lwakataka omuvuzi w’emmotoka z’empaka, asindikiddwa ku Limanda okutuusa nga 9, April, 2019 ku misango gy’okwonoona ebintu e Kiwanga- Lwanda mu divizoni y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono. Lwakataka yabadde agenze mu kkooti okweyanjula mu kkooti y’Omulamuzi w’eddaala erisooka Patience Koburunga nakwatibwa. Omulamuzi agamba nti Lwakataka yalemereddwa okweyanjula mu kkooti nga bwe yali alagiddwa era […]
Ponsiano Lwakataka omuvuzi w’emmotoka z’empaka, asindikiddwa ku Limanda okutuusa nga 9, April, 2019 ku misango gy’okwonoona ebintu e Kiwanga- Lwanda mu divizoni y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono.
Lwakataka yabadde agenze mu kkooti okweyanjula mu kkooti y’Omulamuzi w’eddaala erisooka Patience Koburunga nakwatibwa.
Omulamuzi agamba nti Lwakataka yalemereddwa okweyanjula mu kkooti nga bwe yali alagiddwa era mu kkooti yabadde agenze ne muganda we Ssekitooleko.
Lwakataka ali ku misango gy’okwonoona ebintu bya Joselyn Namayanja n’okumumenya okugulu wabula nga bombi emisango baagyegaanyi era yakwatibwa ku ntandikwa y’omwaka guno oluvannyuma lw’okumenya amayumba g’abatuuze omuli; Joseline Namanya, Antony Lugonvu ne George William Kawooya agambibwa okuba nnannyini ttaka Lwakataka lyakaayanira, yiika bbiri.
Wadde abadde yakirizibwa okweyimirirwa, yazzeemu nakwatibwa era ali ku limanda mu kkomera e Kauga okutuusa nga 9, April, 2019.