Mwana muwala Leile Kayondo alabudde mikwano gye okwegendereza abantu mu bulamu bwabwe kuba abamu sibalambulukufu. Leile wadde y’omu ku bakyala abakoze nnyo mu kisaawe ky’okuyimba, ebintu by’omukwano tebimutambulidde bulungi kuba akyalemeddwa okufuna omusajja omutuufu ataliiko kuvuganya. Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okugamba nti mu bulamu abantu bayinza okukwagala ng’enyongeza, “In reality other people liking you […]
Mwana muwala Leile Kayondo alabudde mikwano gye okwegendereza abantu mu bulamu bwabwe kuba abamu sibalambulukufu.
Leile wadde y’omu ku bakyala abakoze nnyo mu kisaawe ky’okuyimba, ebintu by’omukwano tebimutambulidde bulungi kuba akyalemeddwa okufuna omusajja omutuufu ataliiko kuvuganya.
Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okugamba nti mu bulamu abantu bayinza okukwagala ng’enyongeza, “In reality other people liking you is a bonus“.
Ebigambo bye, abantu abamu bagambye nti kirabika y’emu ku nsonga lwaki yayawukana n’eyali muganzi we Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga kuba yali amutwala nga enyongeza mu laavu kuba mu kiseera ekyo yalina omukyala Angella Vivienne Birungi.

Ennaku zino ali nnyo ku lusegere lw’omuyimbi Nutty Neithan era kigambibwa amukuba amatooke okumuggyako ennyonta y’omukwano.
Mu kiseera kino SK Mbuga n’omukyala Vivienne Birungi bonna bali mu kkomera ku misango gy’okufuna ssente mu lukujjukujju okuva ku muzungu.