ONO AWEDDE! Munnamateeka akawangamudde mu kkooti, abotodde ebyama lwaki Kitatta yakwattibwa ku nsonga za Gen Kayihura, aleese bwiino yenna

©GALAXY

Bannamateeka ba Hajji Abdul Kitatta omuyima wa kabinja ka bodaboda 2010, basabye kkooti y’amaggye okuyimbula omuntu waabwe, eyakwatibwa ku misango egyekuusa ku by’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka ssaako ebyambalo by’amagye mu bukyamu. Bannamateeka nga bakulembeddwamu Shaban Ssanywa, bagamba nti oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta obujjulizi obuyinza okulumika omuntu waabwe. Ssanywa agamba nti oludda oluwaabi lukyalemeddwa […]


Bannamateeka ba Hajji Abdul Kitatta omuyima wa kabinja ka bodaboda 2010, basabye kkooti y’amaggye okuyimbula omuntu waabwe, eyakwatibwa ku misango egyekuusa ku by’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka ssaako ebyambalo by’amagye mu bukyamu.

Bannamateeka nga bakulembeddwamu Shaban Ssanywa, bagamba nti oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta obujjulizi obuyinza okulumika omuntu waabwe.

Ssanywa agamba nti oludda oluwaabi lukyalemeddwa okumatiza kkooti nti emmundu ekika kya basitoola eya Zzaabu ya Kitatta ssaako emmundu ekika SMG, nga kigambibwa baamusanga n’emmundu ezo bwe yali akwatibwa ku Vinetea Hotel e Wakaliga.

Mungeri y’emu agambye nti oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obutambi okuva ku Vinetea Hotel, Kitatta mwe baamukwatira wadde okuleeta abakozi yenna okumulumiriza.

Ssanywa era agamba nti Kitatta okwatibwa, kyakolebwa okuwa bannayuganda essannyu oluvanyuma lwa Palamenti okumuteesaako nti yali tagambwako olw’okuba ku lusegera lwa Gen. Kale Kayihura eyali adduumira Poliisi mu kiseera ekyo era asabye kkooti Kitatta okuyimbulwa nga taguddwako musango gwonna.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lt.Col.Raphael Mugisha lusabye omulamuzi okubawa obudde okwanukula ku nsonga ezo era ssentebbe wa kkooti Lt Gen Andrew Gutti ayongezaayo omusango gwo, okutuusa nga 23, April, 2019.

Kitatta ne banne baziddwaayo ku limanda mu kkomera e Luzira.