WERABA! Pulezidenti wa Sudan Omar al-Bashir amaanyi gamuwedde era bannansi bawangudde, obuyinza bugenze

©GALAXY

Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga erya Sudan, Omar Hassan Ahmad al-Bashir myaka 75 apondoose era amawulire okuva mu ggwanga eryo, galaga nti essaawa yonna agenda kuwaayo obuyinza. Mu kiseera kino amaggye gazinzeeko amaka g’obwa Pulezidenti mu kibuga Khartoum era kigambibwa essaawa yonna al-Bashir bamugyako obuyinza era amawulire galaga nti essaawa yonna amaggye gatwala entebe era abamu ku […]


Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga erya Sudan, Omar Hassan Ahmad al-Bashir myaka 75 apondoose era amawulire okuva mu ggwanga eryo, galaga nti essaawa yonna agenda kuwaayo obuyinza.

Mu kiseera kino amaggye gazinzeeko amaka g’obwa Pulezidenti mu kibuga Khartoum era kigambibwa essaawa yonna al-Bashir bamugyako obuyinza era amawulire galaga nti essaawa yonna amaggye gatwala entebe era abamu ku bakungu mu Gavumenti bakwattiddwa, “Sudanese President Omar al-Bashir is set to step down, Al Arabiya sources have confirmed, adding that some current and former officials have been arrested

Okusinzira ku mukutu ogwa Al Arabiya, waliwo akakiiko akateekeddwawo okutambuza eggwanga amangu ddala nga Omar Hassan Ahmad al-Bashir agiddwa mu buyinza era kakulirwa Minisita w’ensonga z’ebyokwerinda, n’amyuka omukulembeze w’eggwanga asooka Lt. Gen. Ahmed Awad Ibn Auf, “The Sudanese army announces the formation of an interim council headed by Sudan’s Minister of Defense, first Vice President Ahmed Awad Ibn Auf“, era n’ekisaawe k’ennyonyi ekya Khartoum International Airport kigaddwa amaggye, “Al Arabiya sources: Khartoum International Airport has been closed down“.

Mu kiseera kino bannansi bangi bali mu kuyimba nti agenze era tuwangudde, “It has fallen, we have won” wakati mu byokwerinda okuva mu bitongole ebikuuma ddembe.

Kinnajjukirwa nti okuva ku lunnaku Olwomukaaga, bangi ku bannansi bagumbye ku kitebe ky’amaggye mu kibuga Khartoum okusaba amaggye okubegatako okusindikiriza omukulembeze w’eggwanga kuba bakooye embeera embi.

Ate mu Desemba wa 2018 era eggwanga lyonna bannansi beekalakaasa nga bawakanya ebintu okulinya ebbeeyi omuli omugaati nga kivudde ku musolo gw’ebintu okulinyisibwa.
Omar al-Bashir akulembedde eggwanga erya Sudan okuva nga 16, October, 1993 era asinga bamuggya mu buyinza, agenda kwegata ku Abdelaziz Bouteflika ow’e Algeria gwe baagobye omwezi gunno ogwa April.