Omulamuzi Pamela Lamunu Ocaya owa kkooti y’abalyake azzeemu okusindika ku limanda mu kkomera e Luzira omukyala Angella Vivienne Chebet muka SK Mbuga okutuusa nga 24, April, 2019. Omulamuzi Pamela okwongezaayo omusango gwo, kidiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu David Bisamunyu okutegeeza nti bakyanonyereza era kwekusaba kkooti okumwongera obudde. Vivienne avunaanibwa okukozesa olukujukuju n’agya ssente ku bba, […]
Omulamuzi Pamela Lamunu Ocaya owa kkooti y’abalyake azzeemu okusindika ku limanda mu kkomera e Luzira omukyala Angella Vivienne Chebet muka SK Mbuga okutuusa nga 24, April, 2019.
Omulamuzi Pamela okwongezaayo omusango gwo, kidiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu David Bisamunyu okutegeeza nti bakyanonyereza era kwekusaba kkooti okumwongera obudde.

Vivienne avunaanibwa okukozesa olukujukuju n’agya ssente ku bba, Omungereza, Heinsoo ezisoba mu bukadde 400. Omungereza ono ssente yazibba mu kkampuni ya Einar Matsson AB nga yatwalibwa mu kkooti n’avunaanibwa n’asibwa emyaka 4.
Kinnajjukirwa nti nga 13, March, 2019, Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Margret Tibulya yagoba okusaba kwa Vivienne Chebet okweyimirirwa kuba ayinza okudduuka mu ggwanga nga bwe yakola mu ggwanga erya Sweden gye basooka okumuvunaanira.
Mungeri y’emu omulamuzi yategeeza nti abantu Chebet be yali aleese mu kkooti okumweyimirira tebalina busobozi okusasula ssente ezavaako Chebet okukwatibwa singa adduuka mu ggwanga.