OOH NO! Fille akutudde MC Kats omutima, eby’okuddamu okugirabako n’okugikwatako byesonyiwe

©GALAXY

Omuyimbi Fille Mutoni abikudde ekyama nti naye muntu era obulamu bubanja ebintu eby’enjawulo. Fille agamba nti wadde talina ssuubi lyonna okudingana ne bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats, omutima gwe gulina ekirowoozo okuddamu okwagala omuntu omulala. Agamba nti talina buzibu bwonna ku MC Kats kuba amulinamu omwana ate amukoledde bingi mu bulamu bwe ne […]


Omuyimbi Fille Mutoni abikudde ekyama nti naye muntu era obulamu bubanja ebintu eby’enjawulo.

Fille agamba nti wadde talina ssuubi lyonna okudingana ne bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats, omutima gwe gulina ekirowoozo okuddamu okwagala omuntu omulala.

Fille ne MC Kats
Fille ne MC Kats

Agamba nti talina buzibu bwonna ku MC Kats kuba amulinamu omwana ate amukoledde bingi mu bulamu bwe ne mu kisaawe ky’okuyimba kyokka eky’okudingana mukyala na mwami takisuubira mu bulamu bwe.

Fille era agambye nti mu kiseera kino talina musajja yenna kyokka ekiseera ekituufu bwe kinatuuka ajja kuddamu okufuna omusajja omulala amutegeera obulungi.

Ebigambo bya Fille, kabonero akalaga nti MC Kats alina okunoonya omukyala omulala kuba amukutude omutima.