Kyaddaki MC Kats ayogedde omuwendo gw’abaana gw’alina, akutudde Fille omutima kuba yali yamukweka ebyama

©GALAXY

Kyaddaki munnamawulire Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats, alangiridde omuwendo gw’abaana baalina mu bulamu bwe. Mc Kats agamba nti alina abaana mukaaga (6), 5 basoma mu massomero ag’ebbeeyi mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo. Mungeri y’emu agambye nti akola emirimu egyenjawulo okubezaawo abaana omuli akola ku Ttiivi, alina edduuka n’ekibiina ekikwasaganya abayimbi okutumbula talenti ekya Music […]


Kyaddaki munnamawulire Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats, alangiridde omuwendo gw’abaana baalina mu bulamu bwe.

Mc Kats agamba nti alina abaana mukaaga (6), 5 basoma mu massomero ag’ebbeeyi mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Mungeri y’emu agambye nti akola emirimu egyenjawulo okubezaawo abaana omuli akola ku Ttiivi, alina edduuka n’ekibiina ekikwasaganya abayimbi okutumbula talenti ekya Music Label, ekiraga nti musajja mukozi.

Wadde MC Kats alina abaana 6, tekimanyiddwa y’abazaala mu bakyala bameka kuba abadde mukyala we omuyimbi Fille Mutoni amulinamu omwana omu.

Mu kiseera kino MC Kats talina mukyala amanyikiddwa kuba alina essuubi ly’okudingana ne mukyala we Fille.