Lydia Jazmine ayogedde amazima, alaze lwaki Eddy Kenzo alina ebisanyizo bye yetaaga mu bulamu bwe

©GALAXY

Omuyimbi Lydia Jazmine alaze lwaki omuyimbi munne Eddy Kenzo bba wa Rema Namakula y’omu ku basajja abalina ebisanyizo bye yetaaga mu bulamu bwe. Jazmine bw’abadde awayamu ne kigatto waffe, agambye nti mu bulamu bwe, tayinza kwagala musajja mumpi wadde alina ssente. Mungeri y’emu agambye nti wadde omusajja muwanvu, alina okuba ng’alabika bulungi, alagika mu bantu, […]


Omuyimbi Lydia Jazmine alaze lwaki omuyimbi munne Eddy Kenzo bba wa Rema Namakula y’omu ku basajja abalina ebisanyizo bye yetaaga mu bulamu bwe.

Jazmine bw’abadde awayamu ne kigatto waffe, agambye nti mu bulamu bwe, tayinza kwagala musajja mumpi wadde alina ssente.

Mungeri y’emu agambye nti wadde omusajja muwanvu, alina okuba ng’alabika bulungi, alagika mu bantu, alina empisa ate omwetegefu okugumira embeera zonna.

Jazmine ne Kenzo
Jazmine ne Kenzo

Jazmine agamba nti, “nze ndi mukyala muyimbi, nina okufuna omusajja alina okugumira embeera zaange kuba emirimu gyange egy’okuyimba gya kiro, kyokka mu kiseera kino sinoonya era ndi contented, mu kiseera kino ntunuulidde kuyimba, ebya basajja ate nammwe mundekemu“.

Lydia Jazmine bwe yabuziddwa oba ali mu laavu ne Kenzo oba yali abaddeko mu mukwano naye, yagambye nti, “abantu balina eddembe okwogera, naye nze kye manyi Kenzo mukwano gwange kuba ffena tuli bayimbi, kale nze nga Jazmine tewali ngeri yonna gy’oyinza kulemesa bantu kwogera“.

Wadde Jazmine yegaanye okwagala Kenzo, naye ku bisanyizo bye yetaaga ku musajja gw’ayinza okuwa omukisa okumukuba empeta, Kenzo y’omu ku basajja abalina buli kimu.