Poliisi ekutte 4 ku by’okubba Ente, babadde bazitwala Kampala bawone obwavu

©GALAXY

Poliisi y’e Kiboga ekutte abantu bana (4) ku by’okubba ente za Namwandu Makuza Edisa n’abatuuze abalala ku kyalo Kalokola mu ggoombolola y’e Bukomero mu Disitulikiti y’e Kiboga. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Wamala ASP Nobert Ochom, mu kiro kya 13, April, 2019, abatuuze baabakubidde essimu nti waliwo ababbi abazinze ekyalo kyabwe okubba […]


Poliisi y’e Kiboga ekutte abantu bana (4) ku by’okubba ente za Namwandu Makuza Edisa n’abatuuze abalala ku kyalo Kalokola mu ggoombolola y’e Bukomero mu Disitulikiti y’e Kiboga.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Wamala ASP Nobert Ochom, mu kiro kya 13, April, 2019, abatuuze baabakubidde essimu nti waliwo ababbi abazinze ekyalo kyabwe okubba ente zonna.

Ochom agamba nti Poliisi yasitukiddemu era abantu 4 bakwattiddwa poliisi ne Nte enzibe nga beteekateeka kuzitwala mu Kampala.

Abakwate kuliko Kirabira Abbas, Kigongo Ibrahim, Sekitoleko John ne Makubuya Eric ate ente zikwasiddwa bannanyinizo.