AUDIO ENKAMBWE! Simwe mwanzalira omwana wange era mumwesonyiwe, Maama wa Fresh Kid atabukidde Minisita Nakiwala ne Gavumenti, akulukuse amaziga

©GALAXY

Abazadde b’omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa Fresh Kid myaka 7 batabukidde Minisita avunaanyibwa ku by’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi ne Gavumenti okwesonyiwa omwana waabwe. Maama Madrine Namata agamba nti Gavumenti erina okwesonyiwa omwana we kuba okuzaala omwana alina talenti si musango era Minisita Nakiwala yakoze nsobi okumulagira okugenda ku Poliisi. Maama Namata agamba nti yewunyiza Minisita […]


Abazadde b’omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa Fresh Kid myaka 7 batabukidde Minisita avunaanyibwa ku by’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi ne Gavumenti okwesonyiwa omwana waabwe.
Maama Madrine Namata agamba nti Gavumenti erina okwesonyiwa omwana we kuba okuzaala omwana alina talenti si musango era Minisita Nakiwala yakoze nsobi okumulagira okugenda ku Poliisi.

Maama Namata agamba nti yewunyiza Minisita Nakiwala olunnaku olw’eggulo ku Mmande okwekebejje ennyumba yonna ng’anoonya Fresh Kid n’okugikuba ebifaananyi, ekiraga nti okuzaala omwana alina talenti musango.

Mungeri y’emu agambye nti wadde Gavumenti erina obuyinza ku nsonga ezenjawulo,  Minisita Nakiwala alina okwesonyiwa omwana we kuba ye nnyina era Minisita alina okusala Puleesa.