Abalonzi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo balaga nti Ssalongo Erias Lukwago asemberedde okuddamu okuwangula okulonda kwa 2021 ku bwa meeya bwa Kampala wadde omuyimbi Dr Jose Chameleone avuddeyo okumwesimbako. Okusinzira ku byakava mu kulonda ku mutimbagano gwa ‘facebook’ gwa Galaxy FM 100.2, Lukwago akyalebya Chameleone era abalonzi bagamba nti balina okulonda omuntu alina omutima ogulwanirira abantu […]
Abalonzi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo balaga nti Ssalongo Erias Lukwago asemberedde okuddamu okuwangula okulonda kwa 2021 ku bwa meeya bwa Kampala wadde omuyimbi Dr Jose Chameleone avuddeyo okumwesimbako.
Okusinzira ku byakava mu kulonda ku mutimbagano gwa ‘facebook’ gwa Galaxy FM 100.2, Lukwago akyalebya Chameleone era abalonzi bagamba nti balina okulonda omuntu alina omutima ogulwanirira abantu mu Kampala n’okusingira ddala mu mateeka.
Ku balonzi 2300, Lukwago alina obululu 1200 (56%) ate Chameleone alina obululu 998 (44%).
Abalonzi abamu bagamba nti Chameleone ye muyimbi wa Uganda asinga era abadde akulembeddemu okukwata ekisaawe ky’okuyimba nga bakyamwetaaga okubayimbira okusinga okugenda mu byobufuzi.
Ate abalonzi abawagira Lukwago okuddamu okuwangula obwa Loodi Meeya mu kulonda kwa 2021, bagamba nti musajja agwanidde, abadde akoze bulungi nnyo okulwanirira abantu n’okusingira ddala abasuubuzi era y’emu ku nsonga lwaki bakyamwetaaga mu Kampala.
Abalonzi abamu bagamba nti Lukwago aludde mu Kampala era bingi ebimulemye era 2021 bagamba nti bagenda kulonda Pulezidenti wa People’s Development Party (PDP) Abed Bwanika oba Omubaka wa palamenti owa Kawempe north era nga ye Imam wa palamenti Latiff Sebaggala kuba ne Chameleone tasobola kulembera Kampala.
Okusinzira kakiiko k’ebyokulonda ku mutimbagano gwa Face Book ogwa Galaxy FM 100.2, omuwanguzi wakati wa Lukwago ne Chameleone wakulangirirwa sabiti eno ku Lwokutaano nga 19, April, 2019.