Omar al-Bashir owa Sudan bimwononekedde, asindikiddwa mu kkomera wakati mu byokwerinda, abasibe bamwaniriza mu ssanyu

©GALAXY

Abadde omukulembeze w’eggwanga erya Sudan Omar Hassan Ahmad al-Bashir asindikiddwa mu kkomera wakati mu byokwerinda. Omar al-Bashir myaka 75 atwaliddwa mu Kobar maximum security prison mu kibuga Khartoum. Bukya agibwa mu buyinza sabiti ewedde ku Lwokuna, abadde mu mikono gy’amaggye mu makaage mu kibuga Khartoum, okutuusa olunnaku olwaleero, lwatwaliddwa mu kkomera ku misango egitamanyiddwa. Mu […]


Abadde omukulembeze w’eggwanga erya Sudan Omar Hassan Ahmad al-Bashir asindikiddwa mu kkomera wakati mu byokwerinda.
Omar al-Bashir myaka 75 atwaliddwa mu Kobar maximum security prison mu kibuga Khartoum.
Bukya agibwa mu buyinza sabiti ewedde ku Lwokuna, abadde mu mikono gy’amaggye mu makaage mu kibuga Khartoum, okutuusa olunnaku olwaleero, lwatwaliddwa mu kkomera ku misango egitamanyiddwa.
Mu kiseera kino bannansi bakyali ku nguudo okwekalakaasa okutuusa ng’obuyinza bugiddwa mu mikono gy’amaggye ne bukwasibwa omuntu wabuligyo.