Essanyu mu kkooti, Omulamuzi Mwangusya ne Tibatemwa bawadde essuubi ababaka ku ludda oluvuganya, banaabidde Pulezidenti Museveni mu maaso

©GALAXY

Ku balamuzi 7 mu kkooti ensukulu, 4 bakomekereza okuwa ensala yaabwe. Abalamuzi Stella Arach Amoko ne Rubby Opio Aweri bawagidde ekya Kkooti ya Ssemateeka eyatuula e Mbale nti okuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna ayagala obwa Pulezidenti bw’eggwanga lino nga bakyusa akawayiro 102B, bakikola mu mateeka. Ate abalamuzi Eldard Mwangusya ne Prof. Lillian Tibatemwa Ekirikubinza […]


Ku balamuzi 7 mu kkooti ensukulu, 4 bakomekereza okuwa ensala yaabwe.
Abalamuzi Stella Arach Amoko ne Rubby Opio Aweri bawagidde ekya Kkooti ya Ssemateeka eyatuula e Mbale nti okuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna ayagala obwa Pulezidenti bw’eggwanga lino nga bakyusa akawayiro 102B, bakikola mu mateeka.

Ate abalamuzi Eldard Mwangusya ne Prof. Lillian Tibatemwa Ekirikubinza bakiwakanyiza era bagamba nti kyakolebwa mu bukyamu.
Omulamuzi Mwangusya agamba nti etteeka lyatekebwako omukono mubukyamu oluvannyuma lwa ‘Certificate’ eyaliwerekera okuva ewa Sipiika okuba ey’ekitundu, ekintu ekimenya amateeka.

Mungeri y’emu agambye nti, “Okuva ku ntandikwa, ebbago elyaleetebwa omubaka Rapheal Magyezi lyali lyakusika muguwa era lyasanyalaza emirimu gya palamenti nolwekyo okuliyisa kwali kukyamu”.

Ate omulamuzi Tibatemwa agamba nti, “obuyinza okukola enoongosereza sibwebumu n’obuyinza okuddamu okuwandiika ssemateeka. Obuyinza bw’okukyuusa buli n’abantu so ssi ababakiikirira.

Omulamuzi Mwangusya ne Tibatemwa okuwakanya engeri etteeka ly’okuggya ekkomo ku myaka gye baliyisaamu mu Palamenti, kabonero akalaga nti banaabidde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu maaso kuba bayimiridde mu kkubo lye ly’okuddamu okwesimbawo mu kulonda kwa 2021.

Ate Omulamuzi Amoko ne Opio bagamba nti tewali tteeka lyonna lyamenyebwa Palamenti okukyusa akawayiro 102B era sipiika Rebecca Kadaga yagoberera ssemateeka kyokka bonna bavumiridde ekya maggye okuyingira Palamenti.
Wabula omulamuzi Amoko agamba nti okulwanagana okwali mu Palamenti y’emu ku nsonga lwaki amaggye gawalirizibwa okuyingira Palamenti okutereeza embeera.