Wuuno omuzungu asigadde mu bulumi, bw’atunuulidde Rema Namakula wakati mu kkubo nakoona omutwe ku kyuma ng’alobye

©GALAXY

Wuuno omuzungu asigadde akutuse omutima, bw’atunuulidde omuyimbi Rema Namakula nakoona omutwe ku kyuma ng’alobye. Rema okuva sabiti ewedde, abadde mu ggwanga erya Denmark mu kibuga Copenhagen okusanyusa abadigize. Wabula okusinzira ku kigatto waffe mu kibuga ekyo, Rema bwe yabadde atambulako mu kibuga Copenhagen, omuzungu yalobye nga yewuunya omuwala omuddugavu alabika obulungi era ekyavuddemu yakoonye omutwe […]


Wuuno omuzungu asigadde akutuse omutima, bw’atunuulidde omuyimbi Rema Namakula nakoona omutwe ku kyuma ng’alobye.

Rema okuva sabiti ewedde, abadde mu ggwanga erya Denmark mu kibuga Copenhagen okusanyusa abadigize.

Wabula okusinzira ku kigatto waffe mu kibuga ekyo, Rema bwe yabadde atambulako mu kibuga Copenhagen, omuzungu yalobye nga yewuunya omuwala omuddugavu alabika obulungi era ekyavuddemu yakoonye omutwe ku payipu y’ekitaala ku luguudo.

Mungeri y’emu agambye nti omuzungu olw’okutya okuswala, yayanguye okwebuzabuza nti ali ku ssimu era Rema teyafunye mukisa kumulaba kuba yabadde atadde “Ear Phones” mu matu wabula yasigaza enkufu mu kyenyi.

Rema wadde yazaalako, mukyala alabika bulungi kuba ategeera kye bayita okwetekamu ssente okwekuumira ku mulembe n’okusikiriza bba Eddy Kenzo okumutaasa ebikemo by’abawala abalala mu nsi ezenjawulo.