ALINA AMAGEZI! Omusajja alangiridde, 2021 Bebe Cool agenda kwesimbawo ku bwa mmemba bwa Palamenti e Nakawa

©GALAXY

Ssabavvulu Balaam Barugahara alangiridde nti agenda kuyamba omuyimbi Bebe Cool okwesimbawo ku ky’omubaka wa Palamenti e Nakawa mu kulonda kwa 2021. Mu kiseera kino Bobi Wine yalangirira dda okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021, Dr Jose Chameleone ayagala bwa Loodi Meeya n’abaymbi abalala. Barugahara agamba nti Bebe Cool alina obusobozi okwesimbawo kuba musajja yasoma era […]


Ssabavvulu Balaam Barugahara alangiridde nti agenda kuyamba omuyimbi Bebe Cool okwesimbawo ku ky’omubaka wa Palamenti e Nakawa mu kulonda kwa 2021.
Mu kiseera kino Bobi Wine yalangirira dda okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021, Dr Jose Chameleone ayagala bwa Loodi Meeya n’abaymbi abalala.

Balaam
Balaam

Barugahara agamba nti Bebe Cool alina obusobozi okwesimbawo kuba musajja yasoma era alina esuubi nti e Nakawa asobola okuwangula.
Mungeri y’emu agambye nti Bebe Cool agenda kumuteekamu ssente mu 2021, okusobola okuvuganya ku bwa mmemba bwa Palamenti e Nakawa.