ODDANGAYO! Omuyimbi Full Figure akiguddeko, akubiddwa lwa People Power ku Yunivasite

©GALAXY

Full Figure yakubiddwa bwe yabadde agenze okukuuma akalulu ka munnakisinde kya ‘People Power’ eyeesimbyewo ku kifo ky’akulira abayizi ku Yunivasite y’e Gulu era awereddwa ekitanda mu ddwaaliro lya Malcom e Kibuye. Akalulu kaawanguddwa Johnson Noowe owa FDC ate Imuran Ntambazi owa ‘People Power’, Full Figure gwe yabadde awagira n’akwata kyakusatu, mu kalulu akabaddemu okusika omuguwa. […]


Full Figure yakubiddwa bwe yabadde agenze okukuuma akalulu ka munnakisinde kya ‘People Power’ eyeesimbyewo ku kifo ky’akulira abayizi ku Yunivasite y’e Gulu era awereddwa ekitanda mu ddwaaliro lya Malcom e Kibuye.

Akalulu kaawanguddwa Johnson Noowe owa FDC ate Imuran Ntambazi owa ‘People Power’, Full Figure gwe yabadde awagira n’akwata kyakusatu, mu kalulu akabaddemu okusika omuguwa.

Mu ddwaaliro, Full Figure agamba nti ab’ebyokwerinda baasoose kumusaba kaadi ya yunivasite nga tagirina ne bamugoba era wakati mu kanyoolagano okwagala okumufulumya we baamumenyedde omukono.

Ekifaananyi kya Bukedde