Munnakatemba Volodymyr Oleksandrovych Zelensky myaka 41 awangudde obukulembeze bw’eggwanga erya Ukraine. Zelensky wadde tabadde na bumanyirivu mu byobufuzi, awangudde Pulezidenti abadde mu buyinza Petro Poroshenko. Okusinzira ku byalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda, Zelensky yafunye ebitundu 73 ku 100 ate Poroshenko ebitundu 25 ku 100 ate obulala bwafudde. Zelensky abadde alabikira mu buzannyo obw’enjawulo nga Pulezidenti akola ku […]
Munnakatemba Volodymyr Oleksandrovych Zelensky myaka 41 awangudde obukulembeze bw’eggwanga erya Ukraine.
Zelensky wadde tabadde na bumanyirivu mu byobufuzi, awangudde Pulezidenti abadde mu buyinza Petro Poroshenko.
Okusinzira ku byalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda, Zelensky yafunye ebitundu 73 ku 100 ate Poroshenko ebitundu 25 ku 100 ate obulala bwafudde.
Zelensky abadde alabikira mu buzannyo obw’enjawulo nga Pulezidenti akola ku nsonga z’abantu era kiteberezebwa y’emu ku nsonga lwaki yalondeddwa n’okusingira ddala abakyala okumwesiga kuba abadde alaga nti ye Pulezidenti afaayo ku bizibu by’abantu.
Okulonda kuno kwaddiddwaamu oluvannyuma lw’okwasooka era okwali kuwanguddwa Zalensky obutaweza bitundu 50 ku 100 ebyetaagisa mu mateeka era amangu ddala ng’alangiriddwa agumizza abantu okulwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga.
Uganda, abamu bagamba nti Bobi Wine tasobola kulembera eggwanga lino kuba muyimbi naye okuwangula kwa Volodymyr, kabonero akalaga nti buli muntu yenna asobola okuwangula obwa Pulezidenti.