Omuwala attiddwa mu bukambwe lwa kulemesa basajja kumatira nga bali mu kaboozi, abadde abawa rawundi emu yokka ya ddakika 5

©GALAXY

Poliisi y’e Nakibizzi n’e Njeru bakutte abasajja babiri (2) ku by’okutta omuwala Asia Naikoba myaka 26. Naikoba abadde mutuuze ku kyalo Wampala mu divizoni y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe era yattiddwa mu kiro ekyakeesezza ku Ssande ku Paasika nga 21, April, 2019. Omulambo gwa Naikoba gwazuuliddwa baliraanwa be mu muzigo gw’abadde apangisa oluvanyuma lw’okumenya […]


Poliisi y’e Nakibizzi n’e Njeru bakutte abasajja babiri (2) ku by’okutta omuwala Asia Naikoba myaka 26.

Naikoba abadde mutuuze ku kyalo Wampala mu divizoni y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe era yattiddwa mu kiro ekyakeesezza ku Ssande ku Paasika nga 21, April, 2019.

Omulambo gwa Naikoba gwazuuliddwa baliraanwa be mu muzigo gw’abadde apangisa oluvanyuma lw’okumenya oluggi.

Omu ku batuuze Ssempa John agamba nti Naikoba kirabika abadde alina ebanja kuba yalabiddwako ku Lwomukaaga nga waliwo abasajja babiri abamusaba ssente nga tazirina.

Ate abamu ku batuuze bagamba nti omuwala Naikoba abadde alina abasajja abenjawulo era kirabika y’emu ku nsonga lwaki yattiddwa.

Poliisi egamba nti ekutte Steven Kato ne Gerald Ibanda okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Ekifaananyi kya Bukedde