KINO KYE BAYITA SSENTE! Bryan White alaze nti tagwamu, asanyalazza ebyentambula wakati mu kuvuga emmotoka ez’ebeeyi, bamukuuma nga Pulezidenti

©GALAXY

Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White alaze nti y’omu ku basajja abalina ssente wadde abamu ku bannayuganda bagamba nti yagwamu. Okuva mu mwaka 2017, Bryan White yali yegulidde erinnya mu kumansamansa ssente kyokka oluvanyuma yakyusa endowooza era kwekutandiika okuyamba abantu n’okusingira ddala abavubuka. Bryan White yatandiika mpolampola okuggya abavubuka ku njaga, obubbi era okwongera […]


Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White alaze nti y’omu ku basajja abalina ssente wadde abamu ku bannayuganda bagamba nti yagwamu.
Okuva mu mwaka 2017, Bryan White yali yegulidde erinnya mu kumansamansa ssente kyokka oluvanyuma yakyusa endowooza era kwekutandiika okuyamba abantu n’okusingira ddala abavubuka.
Bryan White yatandiika mpolampola okuggya abavubuka ku njaga, obubbi era okwongera okutukiriza ekirooto kye, yasalawo n’adda e Busunju okutekayo pulojekiti omuli etendekero ly’emikono okubangula abavubuka.


Wabula olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, ebyentambula byasanyaladde okumala akaseera ku luguudo lwe Ggaba, Bryan White bwe yabadde akyamye okunywa amafuta ku Shell Bunga wakati mu byokwerinda.
Bryan White yabadde atambulira mu luseregende lwa mmotoka 5, ey’abasirikale eggula oluguudo nga yekulembedde, eyiye namba bbiri (3) ssaako n’emmotoka endala satu (3) okumugoberera omuli Super custom bbiri (2) nga zonna mpya.