Bw’oba okooye obulamu wepanka kigezeeko, Pulezidenti Museveni alabudde mu bukambwe, alangiridde ekiddako

©GALAXY

Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde okufafaagana n’omuntu yenna ayagala okutabangula eggwanga lino. Museveni agamba nti ng’ali mu buyinza, tewali muntu yenna ayinza kugezaako kutabangula mirembe mu ggwanga. Bwe yabadde eyogerako eri abatuuze ku kisaawe ky’essaza e Kasangati olunnaku olw’eggulo ku Ssande mu kutoongoza ekitabo […]


Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde okufafaagana n’omuntu yenna ayagala okutabangula eggwanga lino.
Museveni agamba nti ng’ali mu buyinza, tewali muntu yenna ayinza kugezaako kutabangula mirembe mu ggwanga.
Bwe yabadde eyogerako eri abatuuze ku kisaawe ky’essaza e Kasangati olunnaku olw’eggulo ku Ssande mu kutoongoza ekitabo ekitendereza ebirungi byakoledde eggwanga lino, nga kiwandikiddwa Sheikh Sulaiman Guggwa, yagambye nti, “akooye obulamu, agezeeko okutabula Uganda“.

Ebigambo bya Pulezidenti Museveni kabonero akalaga nti abavubuka balina okukomya effujjo nga balowooza nti kigenda kubayamba okufuna enkyukakyuka mu bukulembeze.

Eddoboozi lya Pulezidenti Museveni