Jose Chameleone ayugumizza ekibuga, abantu bamwaniriza mu ssanyu okusinga ku wamwe, abasirikale basobeddwa eky’okukola

©GALAXY

Jose Chameleone alaze nti mwetegefu nnyo okuvuganya ku bwa Loodi meeya mu kulonda kwa 2021, okusigukulula Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago. Chameleone yabadde mu kibuga e Ggaba era yakulembeddemu okukola Bulungi bwansi wakati mu byokwerinda okutangira omuntu yenna ayinza okukola effujjo. Chameleone ne banne bakoze bulungi bwansi omuli okuyonja akatale era oluvanyuma ttiimu ye ey’omupiira gw’ebigere […]


Jose Chameleone alaze nti mwetegefu nnyo okuvuganya ku bwa Loodi meeya mu kulonda kwa 2021, okusigukulula Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago.

Chameleone yabadde mu kibuga e Ggaba era yakulembeddemu okukola Bulungi bwansi wakati mu byokwerinda okutangira omuntu yenna ayinza okukola effujjo.

Chameleone ne banne bakoze bulungi bwansi omuli okuyonja akatale era oluvanyuma ttiimu ye ey’omupiira gw’ebigere 100% Chameleone FC yasambye ne Ggaba FC omupiira ogw’omukwano.