Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, asabye abazadde bonna okukomya okutematemanga mu ttaka lyabwe nga baliwa abaana baabwe. Bino Pulezidenti abyogeredde Fort Portal mu Tooro, n’agamba nti embeera eyo, eviriddeko obwavu okweyongera okusanikira ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Museveni agamba nti bannayuganda balina okujjumbira okulima ebintu ebivaamu ku ssente kuba kyetagisa ettaka eddene okukituukiriza. Agamba nti abazadde okutematemanga […]
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, asabye abazadde bonna okukomya okutematemanga mu ttaka lyabwe nga baliwa abaana baabwe.
Bino Pulezidenti abyogeredde Fort Portal mu Tooro, n’agamba nti embeera eyo, eviriddeko obwavu okweyongera okusanikira ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Museveni agamba nti bannayuganda balina okujjumbira okulima ebintu ebivaamu ku ssente kuba kyetagisa ettaka eddene okukituukiriza.
Agamba nti abazadde okutematemanga mu ttaka ne bawa abaana Poloti, babakuumidde mu mbeera embi ey’obwavu kuba tebasobola kulima kintu kyonna kufuna ssente.

Museveni agamba nti Gavumenti yakwongera okuzimba enguudo, amassomero, amalwaliro n’okusasaanya amasanyalaze kuba byonna biyambira ddala okulwanyisa obwavu eri bannansi.