Ssebo olina okwesonyiwa mukyala wange kuba gwe yakulema olwa kawaya akatono, Platnumz atabukidde omusajja eyali muganzi wa Tanasha

©GALAXY

Kyaddaki Omuyimbi Diamond Platnumz avuddemu omwasi ku bigambibwa nti yasigula Tanasha Donna mu laavu gye yali alimu n’omusajja omulala mu ggwanga erya Kenya. Gye buvuddeko, waliwo omusajja atemera mu gy’obukulu 28, yatabukira Diamond okusigula muganzi we Tanasha, omuwala yekka eyali mu birowoozo bye ng’atekateeka kumuwasa. Omuvubuka agamba nti Diamond alina erinnya ne ssente, yandibadde anoonya […]


Kyaddaki Omuyimbi Diamond Platnumz avuddemu omwasi ku bigambibwa nti yasigula Tanasha Donna mu laavu gye yali alimu n’omusajja omulala mu ggwanga erya Kenya.

Gye buvuddeko, waliwo omusajja atemera mu gy’obukulu 28, yatabukira Diamond okusigula muganzi we Tanasha, omuwala yekka eyali mu birowoozo bye ng’atekateeka kumuwasa.

Omuvubuka agamba nti Diamond alina erinnya ne ssente, yandibadde anoonya omukyala omulala.

Wabula Diamond bw’abadde ayogerako eri bannamawulire agambye nti Tanasha tamugambangako nti yalina omusajja yenna mu bulamu bwe era y’emu ku nsonga lwaki yamusaba omukwano, “What would I even tell him. She has not told me that she has a boyfriend if she had one they would have to talk it out among themselves”.

Mungeri y’emu agambye nti Tanasha muntu mukulu era tewali muntu yenna amusalirawo bwe kituuka ku nsonga z’omukwano, ekiraga nti Tanasha yamatira waaya ya Platnumz.