LABA OKUSWALA! Ggwe atasoma, olina ennugu, oli musajja mukulu naye oli kisembe era webaze Bobi Wine okuyamba, Khalifa Aganaga atabukidde Bebe Cool mu lwatu

©GALAXY

Omuyimbi Khalifa Aganaga atabukidde muyimbi munne Bebe Cool okugamba nti omuyimbi yenna ali mu byobufuzi, 2021 tebageenda kumuwagira kuba tebalina kuyingiza byabufuzi mu kisaawe kya kuyimba. Aganaga agamba nti Bebe Cool obutasoma y’emu ku nsonga lwaki alina ennugu kuba tewali kifo kya bukulembeze kyasobola kwesimbawo. Mungeri y’emu agambye nti Bebe Cool yali mwana wa Minisita […]


Omuyimbi Khalifa Aganaga atabukidde muyimbi munne Bebe Cool okugamba nti omuyimbi yenna ali mu byobufuzi, 2021 tebageenda kumuwagira kuba tebalina kuyingiza byabufuzi mu kisaawe kya kuyimba.

Aganaga agamba nti Bebe Cool obutasoma y’emu ku nsonga lwaki alina ennugu kuba tewali kifo kya bukulembeze kyasobola kwesimbawo.

Mungeri y’emu agambye nti Bebe Cool yali mwana wa Minisita ng’alina ssente kyokka yalemwa okusoma wabula okwononeeka okugenda e Kamwokya okuyimba oluvanyuma lw’okulaba Bobi Wine ng’ayimba.

Aganaga era agambye nti Bebe Cool obutasoma y’emu ku nsonga lwaki ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akyalemeddwa okufuna ekifo mwamuteeka kuba talina buyigirize.

Eddoboozi lya Aganaga