NAYE MUSAJJA GGWE! Dr. Abed Bwanika atabukidde Bobi Wine ne Mugisha Muntu mu lwatu, ayogedde ebigambo ebitabudde aba People Power

©GALAXY

Pulezidenti w’ekibiina kya People’s Development Party (PDP), Dr. Abed Bwanika atabukidde abakulembeze eb’enjawulo abegwanyiza entebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021, okulemwa okubategeeza engabanya y’obuyinza. Bwanika agamba nti Bobi Wine, Muntu ne banne, balina okubatageeza mu bwangu nti singa balya obukulembeze bw’eggwanga, bafuna ki?. Mungeri y’emu agambye nti buli muntu ali mu People Power […]


Pulezidenti w’ekibiina kya People’s Development Party (PDP), Dr. Abed Bwanika atabukidde abakulembeze eb’enjawulo abegwanyiza entebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021, okulemwa okubategeeza engabanya y’obuyinza.

Bwanika agamba nti Bobi Wine, Muntu ne banne, balina okubatageeza mu bwangu nti singa balya obukulembeze bw’eggwanga, bafuna ki?.
Mungeri y’emu agambye nti buli muntu ali mu People Power alina ensonga lwaki kuba buli omu anoonya mugaati kyokka tebanamanya lwaki banoonya obuyinza, okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu ntebe.