Emmotoka 2 zikoze akabenje ku lw’e Masaka omu afiiriddewo, bangi bataawa

©GALAXY

Omuntu omu, afiiridde mu kabenje akaguddewo enkya ya leero okumpi ne River Katonga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka nga kabaddemu Bbaasi eya Kampuni ya Global ne Isuzu. Okusinzira ku beerabiddeko n’agaabwe ng’enjega eno egwaawo bategeezezza nti ddereeva wa Isuzu nnamba UAY 069W n’abasaabaze abawerako ababadde mu bbaasi nnamba UBB 195N abalumiziddwa eby’ensusso […]


Omuntu omu, afiiridde mu kabenje akaguddewo enkya ya leero okumpi ne River Katonga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka nga kabaddemu Bbaasi eya Kampuni ya Global ne Isuzu.

Okusinzira ku beerabiddeko n’agaabwe ng’enjega eno egwaawo bategeezezza nti ddereeva wa Isuzu nnamba UAY 069W n’abasaabaze abawerako ababadde mu bbaasi nnamba UBB 195N abalumiziddwa eby’ensusso era batwaliddwa mu ddwaaliro e Nkozi nga bali mu mbeera mbi.
Mungeri y’emu bagambye nti akabenje kavudde ku ddereeva wa bbaasi abadde agezaako okuyisiza mu koona.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Katonga, Joseph Tulya agambye nti abagoba b’ebiduuka okugyemera amateeka g’okunguudo y’emu ku nsonga lwaki obubenje bweyongedde obungi ku luguudo lwe Masaka.
Mungeri y’emu agambye nti batandiise okunoonyereza okuzuula ebivuddeko akabenje, poliisi ereese kasiringi zaayo eziggyewo mmotoka ezeenyigidde mu kabenje kano, kitegeerekese nti Ttanibboyi wa Isuzu afiiriddewo.