GIWUNYE! Ebya Martha Kay ne muwala wa Mufti Shawula byonoonese, Poliisi eyogedde amaziga, naffe batulagidde tukikole mu bwangu

©GALAXY

Poliisi ekaatiriza, etandiise okunoonyereza ku Martha Kemi Kagimba amanyikiddwa nga Martha Kay ne Shawula Kasule muwala wa Mufti Sulaiman Kasule Ndilangwa ku misango gy’okusasaanya obuseegu. Sabiti ewedde ng’abayisiramu basemberedde okomekereza ekisiibo, ensi yewuunya muwala wa Mufti, ebifaananyi bye okuluma ng’ali bukunya ssaako ne vidiyo ate wayita ennaku mbale n’ebya Martha Kay ne bisasaanira emitimbagano gya […]


Poliisi ekaatiriza, etandiise okunoonyereza ku Martha Kemi Kagimba amanyikiddwa nga Martha Kay ne Shawula Kasule muwala wa Mufti Sulaiman Kasule Ndilangwa ku misango gy’okusasaanya obuseegu.

Sabiti ewedde ng’abayisiramu basemberedde okomekereza ekisiibo, ensi yewuunya muwala wa Mufti, ebifaananyi bye okuluma ng’ali bukunya ssaako ne vidiyo ate wayita ennaku mbale n’ebya Martha Kay ne bisasaanira emitimbagano gya yintanenti nga naye ali bukunya.

Patrick Onyango
Patrick Onyango

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abawala abo okuli Martha Kay ne Shawula Kasule, bayitiddwa okugibwako sitetimenti ku ngeri ebifaananyi byabwe gye byatuuka ku emitimbagano nga bali bukunya.

Onyango agamba nti sitetimenti zigenda kubayamba nnyo okunoonyereza abakulemberamu okuta ebifaananyi, ekigendererwa kyabwe ssaako n’okutegezebwa emisango gye balina okwewozaako.

Mungeri y’emu agambye nti wadde bayitiddwa, tebanaba kweyanjula ku Poliisi wabula bakyabalinze.