Abakuumi basatu (3) abakwatibwa ku by’okubba n’okutta abakozi ku Cheap General Hardware e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso, essaawa yonna bagenda kuyimbulwa kakalu ka Poliisi. Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde, bamukwata mmundu 6 abaali ku pikipiki, balumbagana Cheap General Hardware ku ssaawa nga 8 ez’emisana era mu kubba obukadde bwa ssente, battirawo abakozi babiri okwali amyuka […]
Abakuumi basatu (3) abakwatibwa ku by’okubba n’okutta abakozi ku Cheap General Hardware e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso, essaawa yonna bagenda kuyimbulwa kakalu ka Poliisi.
Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde, bamukwata mmundu 6 abaali ku pikipiki, balumbagana Cheap General Hardware ku ssaawa nga 8 ez’emisana era mu kubba obukadde bwa ssente, battirawo abakozi babiri okwali amyuka manejja Jimmy Atikuru ne Frank Aruho ate omukozi owokusatu Amin Bugembe yafiira mu ddwaaliro ekkulu e Mulago gy’eyali atwaliddwa ng’ali mu mbeera embi olw’amasasi agaamukubwa.
Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Patrick Onyango, okunoonyereza kulaga nti abakuumi tebalina musango era bonna bagenda kuyimbulwa kakalu ka Poliisi.
Onyango agamba nti bakuumi mu kugibwako sitetimenti, agambye nti ababbi, baalina emmundu ez’amaanyi okusinga ku zaabwe era y’emu ku nsonga lwaki balemwa okwanukula mu kiseera nga balumbye okubba.

Mungeri y’emu abakuumi bagambye nti ababbi bali bangi nnyo nga singa baanukula, bonna baali bayinza okutibwa.
Abakuumi wadde bayimbiddwa, amasimu gaabwe gaakusigala ku Poliisi okumala akabaanga.
Nnannyini dduuka lya Cheap Genral Hardware, George Mutebi yategeezezza poliisi nti, ssente ezibalirirwamu obukadde 300 ze zabbiddwa abazigu era nga zino zaabadde zitwalibwa mu bbanka nga n’emmotoka eyabadde ezikimye yabadde eri kumpi kutuuka.
Eddoboozi lya Onyango