Poliisi ekutte 5 ababbira mu takisi mu Kampala ne babotola ebyama

©GALAXY

Poliisi mu Kampala ekutte abantu bataano (5) abeegulidde erinnya mu kubbira bantu mu takisi. Abakwattiddwa kuliko Fred Tamale, Sam Kawooya, Brighton Ssewanondde, Swaib Kayesige ssaako ne Julius Kabuye. Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwate, okwatibwa kidiridde Poliisi okufuna amawulire nti akawungeezi k’olunnaku olw’okubiri, benyigira mu kubba era Omusango gwabwe gwatwalibwa […]


Poliisi mu Kampala ekutte abantu bataano (5) abeegulidde erinnya mu kubbira bantu mu takisi.

Abakwattiddwa kuliko Fred Tamale, Sam Kawooya, Brighton Ssewanondde, Swaib Kayesige ssaako ne Julius Kabuye.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwate, okwatibwa kidiridde Poliisi okufuna amawulire nti akawungeezi k’olunnaku olw’okubiri, benyigira mu kubba era Omusango gwabwe gwatwalibwa ku Poliisi y’oku Jinja Road.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Owoyesigyire era agambye nti abakwate, bakiriza okwenyigira mu kubba abantu mu takisi mu bitundu bye Jinja Road omuli okutwala ensawo z’abakyala, amassimu, ssente n’ebintu ebirala.

Poliisi egamba nti efunvubidde okulwanyisa abantu bonna abenyigidde mu kubbira bantu mu takisi mu bitundu eby’enjawulo omuli Kiyembe ku luguudo lwe Jinja Road, Equatorial Mall, Bat Valley n’ebitundu ebirala.