Kkooti y’amaggye eyimbudde eyali omubaka we Bubulo Kipoi, aweereddwa obukwakulizo obukambwe

©GALAXY

Eyali omubaka we Bubulo mu Palamenti ya Uganda Tonny Nsubuga Kipoi ayimbuddwa kkooti y’amaggye e Makindye, ssentebbe wa kkooti Lt Gen Andrew Gutti bw’amukiriza okweyimirirwa. Lt Gen Gutti akirizza Kipoi okweyimirirwa nga taleese muntu yenna mu kkooti era tasabiddwa wadde 100 oluvanyuma lw’emyezi 15 mu kkomera e Luzira. Kipoi okuyimbulwa, kikoleddwa okuwa oludda oluwaabi obudde […]


Eyali omubaka we Bubulo mu Palamenti ya Uganda Tonny Nsubuga Kipoi ayimbuddwa kkooti y’amaggye e Makindye, ssentebbe wa kkooti Lt Gen Andrew Gutti bw’amukiriza okweyimirirwa.

Lt Gen Gutti akirizza Kipoi okweyimirirwa nga taleese muntu yenna mu kkooti era tasabiddwa wadde 100 oluvanyuma lw’emyezi 15 mu kkomera e Luzira.

Kipoi okuyimbulwa, kikoleddwa okuwa oludda oluwaabi obudde okukomekereza okunoonyereza kyokka alagiddwa okweyanjula eri omuwandiisi wa kkooti buli Lwakuna olusooka mu mwezi.

Kipoi yagobwa mu ggwanga erya Botswana ne bamutikka ne bamuzza mu Uganda kyokka oluvanyuma yakwatibwa ku misango gy’okwagala okuvunika Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Okusinzira ku ludda oluwaabi wakati wa November 2012 ne December 2013 mu bitundu bya Kampala ne Mambuka ga Uganda, Kipoi yatuuza enkiiko okufuna amaggye n’ekigendererwa eky’okuggyako Gavumenti.