Kyaddaki Poliisi eyogedde kyetuseeko mu kunoonyereza ku batemu abalumbagana edduuka eritunda ebizimbisibwa erya Cheap Hardware mu katawuni k’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso, nga 29, May, 2019. Mu kulumba edduuka eryo, abantu 2 battibwa olw’amasasi agaabakubwa okwali eyali amyuka manejja Atikuru Jimmy ne Frank Mutsinda ate omukozi ow’okusatu Bugembe Amin, yafiira mu ddwaaliro ekkulu e […]
Kyaddaki Poliisi eyogedde kyetuseeko mu kunoonyereza ku batemu abalumbagana edduuka eritunda ebizimbisibwa erya Cheap Hardware mu katawuni k’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso, nga 29, May, 2019.
Mu kulumba edduuka eryo, abantu 2 battibwa olw’amasasi agaabakubwa okwali eyali amyuka manejja Atikuru Jimmy ne Frank Mutsinda ate omukozi ow’okusatu Bugembe Amin, yafiira mu ddwaaliro ekkulu e Mulago enkeera nga 30, May, 2019.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Afande Fred Enanga, bakwata abantu musanvu (7), mukaaga (6) baayimbulwa ku kakalu ka poliisi, omuntu omu (1) ali mu mikono gyabwe.
Mungeri y’emu Enanga agambye nti balina vidiyo eyakwatibwa ku kkamera eraga abamu ku bantu abateeberezebwa okwenyigira mu bubbi obwakoleddwa ku Cheap Hardware era okunoonyereza kukyagenda mu maaso.
Obunyazi obwo, bwakoleddwa abantu mukaaga abaali bambadde obukookolo ku maaso era baasobola kuziba luguudo lw’e Nansana okumala eddakiika ezisoba mu 30 ne bakuba amasasi agasoba mu 100 oluvannyuma ne babulawo.
Eddoboozi lya Enanga