AMUSWAZIZZA! Kyaddaki Frank Gashumba aleese bwiino yenna ku Martha Kay, ayogedde lwaki kimugwanidde

©GALAXY

Akulira ekibiina kya Sisimuka Uganda Frank Gashumba era avuddeyo ku nsonga z’omuwala Martha Kay. Omwezi oguwedde ogwa Mayi, ebifaananyi bya Martha Kay byafulumira ku  mitimbagano gya yintanenti ng’ali bukunya, ekyawuninkirizza ensi. Wabula Gashumba agamba nti naye muzadde, singa ebifaananyi by’omwana yenna bifuluma ng’ali bukunya, abazadde bakosebwa nnyo kuba kikolwa kya buswavu. Mungeri y’emu agambye nti […]


Akulira ekibiina kya Sisimuka Uganda Frank Gashumba era avuddeyo ku nsonga z’omuwala Martha Kay.

Omwezi oguwedde ogwa Mayi, ebifaananyi bya Martha Kay byafulumira ku  mitimbagano gya yintanenti ng’ali bukunya, ekyawuninkirizza ensi.

Wabula Gashumba agamba nti naye muzadde, singa ebifaananyi by’omwana yenna bifuluma ng’ali bukunya, abazadde bakosebwa nnyo kuba kikolwa kya buswavu.

Mungeri y’emu agambye nti ebifaananyi bya Martha okufuluma kyamugwanira kuba kiswaza omwana omuwala ow’ekitiibwa ate nga yasoma okwegaala mu maaso ga Kamera n’ekigendererwa eky’okusindikira omulenzi ebifaananyi by’obwereere.

Gashumba era agambye nti singa Martha Kay yawambibwa, nakubwa ebifaananyi ng’ali bukunya, yandibadde amusaasira n’okusaba abakulu mu Gavumenti okunoonyereza okukwata abantu abaakikola wabula Martha Kay yakikola ategeera bulungi okwekubya ebifaananyi ng’ali bwereere.