MBIKOOYE! Omulamuzi akambuwadde, asuddewo omusango gwa Posiano Lwakataka lwa bigambo

©GALAXY

Bya Marvin Museyeye Akulira balamuzi ba kkooti ento e Mukono Juliet Hataga avudde mu mbeera nategezza nga bwatakyaddamu kuwulira omusango gw’omuvuzi we mmotoka z’eppaka Posiano Lwakataka gwe yali yawaaba mu kkooti nga ye mulugunya ku bantu bajjemera ekirangiro kya kkooti. Posiano Lwakataka ne muganda we Deo Kizito baddukira mu kkkooti eno nga bemulugunya ku bantu […]


Bya Marvin Museyeye

Akulira balamuzi ba kkooti ento e Mukono Juliet Hataga avudde mu mbeera nategezza nga bwatakyaddamu kuwulira omusango gw’omuvuzi we mmotoka z’eppaka Posiano Lwakataka gwe yali yawaaba mu kkooti nga ye mulugunya ku bantu bajjemera ekirangiro kya kkooti.
Posiano Lwakataka ne muganda we Deo Kizito baddukira mu kkkooti eno nga bemulugunya ku bantu be bagugulana nabo ku nsonga z’ettaka Mzeei George William Kawooya, Gorret Nanonzi , kato Kigguddu ne Magosha Ayub be bagamba nti bagyemera ekirangiro kya kkooti ekyali kibakugira obutaddamu kukozesa ttaka elisangimbwa ku kyalo Kiwanga Lwanda mu Goma division nga kino kigambibwa nti kkooti yakiyisa mu mwaka gwa 1997.
Lwakataka agamba nti bantu banno bagenda mu maaso okukolerako ebintu eby’enjawulo omuli okuzimbako ssaako n’okulimirako era ng’abadde ayagala kkooti eno esaleeewo eggoye kunsonga eno.
Lwakataka abaddenga yemulugunya nti abo bavunana bamwewanirako nti omulamuzi ali ku ludda lwabwe era nti omulamuzi ono wa luganda lwabo bavunana nga tasubira kufuna bwekanya ekyamuwaliriza okusaba omulamuzi gye buvuddeko avve musango, wabula omulamuuzi namugumya nti ye yasooma mateeka era ajja kukola amateeka kyegalagira.
Omulamuzi okuva mu mbeera kidiridde pulida wa Lwakataka Samuel Ayetule okumusaba aguvvemu ng’abagamba nti tebajja kuba bamativu nangeri gyegunasalwamu olw’ebigambibwa nti Hatanga wa Luganda n’abawawambirwa.
Ettaka lino lya bakayanira lyali lya mugenzi Antonio Kiguddu nga ye taata wa lwakataka omuto nga lyali liweza yiika bbiri kyokka oluvanyuma lw’okuffa namwandu we Goreti Nanonzi saako ne bamulekwa basalawo okutunda ettaka lino nga yiika emu bagiguza Goerge William Kawooya ate eddala nebagiguza Masusera Mukasa Lwakataka kyawakanya .