Poliisi y’e Jinja atandiise okunoonyereza ku ngeri omukyala gy’attiddwa, omulambo gwe ne gusulibwa mu kakuubo wakati w’oluguudo Main Street ne Gabula mu Monisipaali y’e Jinja. Omulambo gw’omukyala gulabiddwa abatuuze, abatemezza ku poliisi era kirowoozebwa nti abaamusse baasoose kumusobyako ekiro bwe yabadde addayo awaka. Omulambo gusangiddwako ebiwundu eby’amaanyi ku mutwe ne ku bulago era gutwaliddwa mu […]
Poliisi y’e Jinja atandiise okunoonyereza ku ngeri omukyala gy’attiddwa, omulambo gwe ne gusulibwa mu kakuubo wakati w’oluguudo Main Street ne Gabula mu Monisipaali y’e Jinja.
Omulambo gw’omukyala gulabiddwa abatuuze, abatemezza ku poliisi era kirowoozebwa nti abaamusse baasoose kumusobyako ekiro bwe yabadde addayo awaka.
Omulambo gusangiddwako ebiwundu eby’amaanyi ku mutwe ne ku bulago era gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja okwekebejjebwa.
Ayasi Kibuka ng’avuga bodaboda agamba nti Poliisi esukkiridde obugayavu mu kulawuna obudde obw’ekiro era y’emu ku nsonga abantu abattibwa.
Poliisi egamba nti etandiise okunoonyereza ku ngeri omukyala gye yattiddwamu.