BAMBI! MC Kats alangiridde okuwumula okuwereza ku TV, ayogedde lwaki abikooye

©GALAXY

Munnamawulire Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats alangiridde nti essaawa yonna agenda kuwumula okuwerezza ku ttiivi wadde abadde afuna ssente. Mc Kats agamba nti akoze ku TV emyaka egisukka 15, alina okuvaako okuwa omukisa abantu abalala okuwerezza eggwanga. Agamba nti wadde avudde ku lutimbe lwa TV, asobola okusigala mu fumbiro nga Polodyusa, okutendeka abantu abalala […]


Munnamawulire Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats alangiridde nti essaawa yonna agenda kuwumula okuwerezza ku ttiivi wadde abadde afuna ssente.

Mc Kats agamba nti akoze ku TV emyaka egisukka 15, alina okuvaako okuwa omukisa abantu abalala okuwerezza eggwanga.

Agamba nti wadde avudde ku lutimbe lwa TV, asobola okusigala mu fumbiro nga Polodyusa, okutendeka abantu abalala obwa MC, okutegeka ebivvulu n’okumanejinga abayimbi.

MC Kats musajja alina abakyala n’abaana era akozeeko ku TV ez’enjawulo omuli NTV, mu kiseera kino ali ku NBS mu pologulamu after 5.

Mu Uganda, MC Kats kyakulabirako nnyo eri abantu abalala kuba asobodde okuyamba abantu bangi nnyo okukyusa obulamu bwabwe.