Omukyala Annet Namata eyaliisa omwana wa muggya we emmere mwatadde omusaayi gwe ogw’ebitundu by’ekyama ng’ali mu nsonga asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kawuga mu disitulikiti y’e Mukono okumala sabiti bbiri (2). Namata yakwatibwa mu June, 2019 kyokka Poliisi yamuwa “Bond” kwe kuduka ne yekweka era bazzeemu okumukwata ku kizinga kye Katosi. Amangu ddala yasimbiddwa […]
Omukyala Annet Namata eyaliisa omwana wa muggya we emmere mwatadde omusaayi gwe ogw’ebitundu by’ekyama ng’ali mu nsonga asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kawuga mu disitulikiti y’e Mukono okumala sabiti bbiri (2).
Namata yakwatibwa mu June, 2019 kyokka Poliisi yamuwa “Bond” kwe kuduka ne yekweka era bazzeemu okumukwata ku kizinga kye Katosi.
Amangu ddala yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Mukono Patience Koburunga, neyegaana emisango gy’okuwa omwana emmere omuteekeddwa omusaayi gwe ogw’ebitundu by’ekyama.
Wabula mu kusooka, bba Yunus Lungu yasobodde okutegeeza Poliisi nti omukyala Namata yakirizza okuwa omwana omusaayi gw’ebitundu by’ekyama kwe kusaba olukiiko lw’ekyalo nga lukulembeddwamu Nnabakyala w’ekitundu okumusonyiwa.
Namata yagamba nti yawa omwana emmere y’omusaayi kuba bba Lungu yali asukkiridde okumwagala n’okumususuuta.
Omulamuzi Koburunga agambye nti bakyanoonyereza kwekusindika Namata ku limanda okumala sabiti bbiri (2) okuwa obudde oludda oluwaabi okukomekerezza okunoonyereza.