ALEESE BWIINO! Muswadde nze ne Kenzo tewali muntu yenna ayinza kutwawula, Jazmine asekeredde bannayuganda, awadde ensonga ze

©GALAXY

Omuyimbi Lydia Jazmine agamba nti bannayuganda baddembe okwogera ebigambo byonna naye tewali muntu yenna ayinza kubawula ne muyimbi munne Eddy Kenzo bba w’omukyala Rema Namakula. Abamu ku bannayuganda bagamba nti Jazmine ne Kenzo baagalana era mbu balabiddwako enfunda eziwera nga bali bombi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Jazmine agamba nti alina ebintu bingi byafanaganya ne Kenzo […]


Omuyimbi Lydia Jazmine agamba nti bannayuganda baddembe okwogera ebigambo byonna naye tewali muntu yenna ayinza kubawula ne muyimbi munne Eddy Kenzo bba w’omukyala Rema Namakula.

Abamu ku bannayuganda bagamba nti Jazmine ne Kenzo baagalana era mbu balabiddwako enfunda eziwera nga bali bombi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Jazmine agamba nti alina ebintu bingi byafanaganya ne Kenzo kuba bombi bayimbi ate bonna banoonye ssente.

Mungeri y’emu agamba nti, “Nze ne Kenzo tumanyaganye okuva edda. Y’omu ku bayimbi benegomba mu Uganda era mukwano gwange nnyo kuba muyigiddeko ebintu bingi, muwanguzi ate nze njagala nnyo okusembeza n’okukolagana n’abantu abawanguzi mu nsi“.