Poliisi y’e Bugiri ekutte abasajja babiri (2) ku by’okwagala okubba obukadde bwa ssente ku musuubuzi omugundivu akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu. Ababbi, baawondedde omusuubuzi okuva obukadde bwa shs 90 bwe yabadde yakava mu bbanka ya Centenary ettabi lye Bugiri. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, James Mubi, omusuubuzi bwe yatuuse ku […]
Poliisi y’e Bugiri ekutte abasajja babiri (2) ku by’okwagala okubba obukadde bwa ssente ku musuubuzi omugundivu akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu.
Ababbi, baawondedde omusuubuzi okuva obukadde bwa shs 90 bwe yabadde yakava mu bbanka ya Centenary ettabi lye Bugiri.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, James Mubi, omusuubuzi bwe yatuuse ku kitebe kya disitulikiti, yekengedde abantu obwedda abamuwondera nga bali mu mmotoka ekika Toyota Harrier namba UBF 127T.
Omusuubuzi yakyusiza entambula ze okudda ku bbanka era amangu ddala abakulu ku bbanka ssaako n’abasirikale baazinzeeko emmotoka, abasajja babiri ne bakwatibwa.
Mubi agaanye okwatuukiriza amaanya g’abasajja abakwattiddwa wabula okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo.